Eyakwatiddwa olw’okusobya ku mwana yetugidde mu kaduukulu

Eyakwatiddwa olw’okusobya ku mwana yetugidde mu kaduukulu

Poliisi mu bitundu bye Jinja etandisse okunoonyereza ku musibe eyeyimbyemu omugwa ne yeta oluvanyuma lw’okukwatibwa ku by'okukabasanya omwana atanetuuka. Kigambibwa nti Bogere Balikoowa ow’emyaka 35 yagombedwaamu obwala abatuuze bwe bamusanze ng’aliko akaana akawala ak’emyaka 13 kaaperereza kyokka nga yabadde kyagye ateebwe okuva mu nkomyo gyamazze emyaka egyisoba mu munaana ku musango gwe gumu. Wabula bweyateeredwa mu kaduukulu ka poliisi y’e Mafubira ng’alindirira okutwalibwa mu mbuga z’amateeka, ono yasangiddwa nga yeetuzze. #NTVNews #Akawungeezi For more news visit http://www.ntv.co.ug Follow us on Twitter   / ntvuganda   Like our Facebook page   / ntvuganda